Saturday, June 04, 2011

BUUZA OMUSAWO

Mutabani wange wa myaka 11 naye alina akawuka ka siriimu. Omwaka oguwedde yatandika okumira eddagala lya ARVs. Ndi mwetegefu okumuyamba okulaba ng’amanyiira eddagala lino asobole okuwangaala naye bikulu ki ebirala bye nnina okumanya okusobola okumuyamba? Nansikombi, Kyengera.

NANSIKOMBI weebale kufaayo kukebeza mwana wo nga bukyali n’okumujjanjaba era kino kyakuyiga eri abazadde abalala.

Mu ngeri y’emu kyakuyiga eri abazadde n’abantu ababeera n’abaana abalina akawuka nti buvunaanyizibwa bwabwe okulaba nti abaana abo bamira eddagala lyabwe mu butuufu bwalyo n’okugoberera amateeka g’abasawo ge babawa nga balibawa okulimira.

l Ky’olina okusooka okukola okuyamba mutabani wo okuwangaala kwe kussaawo enkolagana ennungi wakati wo naye kimusobozese okuba ng’asobola okukubuulira ku kizibu kyonna ky’aba afunye oba obulwadde obuba bumukutte mu ekiseera kyonna.

l Kolagana bulungi n’abasawo b’omwana ono naye okimusseemu kikwanguyize okubeebuuzaako ekiseera kyonna ate nabo abeeyabize mu buli kimu.

l Omwana yenna alina akawuka ka siriimu afuna okusoomoozebwa okutali kumu buli lw’agenda ng’akula ekitegeeza nti yeetaaga abasawo abamuli ku lusegere ng’abategeera ate nabo nga bamutegeera bulungi era weetegekere obudde buno.

l Musikirize okunyummya n’okweyabiza banne bwe bali mu mbeera emu nga bonna balina akawuka. Kino kimuyamba okuba n’ebigendererwa ebirungi n’obuteekubagiza.

Musembereze abaana abalina akawuka naye nga bali bulungi era basanyufu mu mbeera y’obulamu bwabwe.
Abaana bano baba n’ebibiina mwe beegattira naddala ku malwaliro gye bajjanjabira abalina akawuka.

l Nyikira okumutwala mu ddwaaliro buli lwe bakulagira ne bw’aba afunye obuzibu obw’engeri yonna.

l Muliise bulungi omubiri gusobole okuba omulamu n’okulwanyisa endwadde. Musuzenga bulungi era omwagale.

0 Comments:

Post a Comment

<< Home