Abantu bazirikidde e Namugongo omu n’afiirawo
KYASUSSE e Namugongo ku kiggwa ky’Abajulizi Abakatoliki nnamungi w’abantu abaabadde mu mitwalo n’emitwalo bwe beeyiyeeyo mu kusaba olw’okujjukira abajulizi abaafiiririra eddiini yaabwe emyaka 125 egiyise.
Mu kusaba kuno okwakulembeddwa essaza lya Arua era ng’Omusumba waalyo, Sabino Ocan Odoki ye yakulembedde ekitambiro kya Missa, abantu bangi baazirise olw’omujjuzo ekyavuddeko omu eyategeerekeseeko erya Mubarak okufa kyokka ng’obwedda poliisi etwala bangi mu malwaliro nga bataawa.
Omu afudde
Mu mikolo gino mwe mwafiiridde Mubaraka Mwanje eyavudde e Iganga, abantu gwe baayogeddeko ng’eyafudde ekiziyiro, kyokka omuduumizi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Mw. Grace Tyryagumanaawe n’atangaaza nti yazze mulwadde era yafudde ku ssaawa nga 11 nga bukya.
Mu ngeri y’emu okusaba kwabadde kugenda mu maaso, ng’ababbi kye beekola nkoko baana bwe baagufudde omugano gwa kubba nsawo, obusimu n’ebirala kyokka poliisi yakutte bangi era obwedda esomba etwala ku poliisi.
Mu kusaba kuno okwamaze essaawa nga nnya, Ssabasumba w’essaza ly’e Kampala, Cyprian Kizito Lwanga yatutte omukisa n’alabula Bannayuganda bonna nga bw’atajja kukkiriza bantu bamala gakyamuukirira ne basalawo okugenda ku mmeeza entukuvu ne bafuna omubiri gwa Kulisitu so nga si Bakatoliki. Kuno yakuyise kujooga.
Gye buvuddeko, Ssabasumba yasembezza munnabyabufuzi Omukulisitaayo, Olara Otunnu Pulezidenti w’ekibiina kya UPC omubiri gwa Kulisitu mu butanwa wabula Otunnu e Namugongo yabaddeyo era bino bwe yabiwulidde n’akoteka omutwe nga n’Abakristu abamu bwe beesooza okulaga obunyiivu.
Omumyuka wa Pulezidenti omugya, Edward Kiwanuka Ssekandi yakulisiddwa okugwa mu gufo n’omukisa n’aguweebwa okukola obulungi emirimu gye. Ssekandi bwe yabadde asoma obubaka bwa pulezidenti yasabye bannayuganda bonna balabire ku bajulizi bano abaatufiirira nga baagala eggwanga lyabwe nabo bagoberere ennono eno ey’obutatabulatabula mirembe giba gituukiddwako
Ssaabasumba yasabye Baminisita n’ababaka ba Palamenti abaakalondebwa okubaga amateeka agayamba abantu n’okukola ebintu ebigenda okubagya mu bwavu ate Omusumba Sabino n’asaba abali b’enguzi b’ekube mu kifuba basaasire Bannayuganda be babba nabo basobole okukulaakulana.
Mu birabo ebyaweereddwa Mukama abategesi b’essaza lya Arua mwabaddemu n’obusaale 24 nga buno bwayogeddwako ng’akabonero k’okukuuma Eklezia n’ebyayo. Okusaba kwetabiddwako Abasumba n’abakristu okuva mu mawanga ag’enjawulo omuli Nigeria, Zambia, Kenya, Rwanda, Tanzania, Burundi, Congo n’awalala.
Akabenje
Mu kusaba kw’Ekkanisa ya Uganda e Nakiyanja okwakulembeddwa Henry Luke Orombi abalamazi baabunye emiwabo oluvannyuma lw’enkuba okutonnya n’egotaaya emikolo.
Okusaba kwetabiddwamu Ssabalamuzi Benjamin Odoki , sipiika Rebecca Kadaga , Polof. Apolo Nsibambi n’abanene abalala bangi. Omulabirizi w’e Kenya Steven Mwangi ye yabuulidde n’asaba abantu okutwala eky’okulabirako ky’abajulizi ba Uganda banyweze enzikiriza yaabwe mu mitima.
Ssabalabirizi Henry Luke Orombi yasabye mwoyo mutukuvu ajje ataase Bannayuganda ku mbeera eriwo omuli ebbeeyi y’ebintu erinnya buli kadde n’obwegugongo.
Ate abantu bana baatomeddwa mmotoka nga bagenda okulamaga e Namugongo abamu ne bamenyeka amagulu nga kati bapooceza Mulago.
Oliver Namagembe omutuuze we Luzira, yamenyese okugulu , Rebecca Nakabugo omutuuze we Mukono naye yamenyese okugulu Josephine Nakato ne Israel Saku abatuuze b’e Luzira ne bafuna ebisago nga bonna baweereddwa ebitanda.
Namagembe agamba nti yabadde ku pikipiki ya bodaboda nga bagenda e Namugongo bwe batuuse e Kyaliwajjala mmotoka ya takisi n’ebatomera ku ssaawa ssatu ez’ekiro ekyakeesezza ku Lwokutaano nga bali ne Saku
Abalala baakoneddwa nga bayimiridde ku kkubo bamaze okutuuka ku kiggwa ky’abajjulizi e Namugongo bonna ne bateekebwa mu mmotoka nga kati bapooca e Mulago mu waadi 2B.
Omubbi attiddwa
Ye Mukasa Kivumbi agamba nti ku luguudo oluva e Buikwe okugenda e Kiyindi ku mwalo, abanyazi ababadde n’emmundu nga bateeze abaabadde bagenda okulamaga e Namugongo ,abatuuze babazingizza ne battako abadde n’emmundu
Bamuzingizza mu kisaalu ekirimu omugga Mubeeya e Bulere n’abulwa gy’addukira abantu okubadde n’abo be babadde banyaguludde babataayizza era abadde n’emmundu baamutemye ejjambiya ku mutwe kumpi kugubajjula n’afa ng’ayogedde banne bwe babadde kyokka nga bo babulidde mu bikajjo bya Mehta
Basoose kukwata musajja Richard Ssebyala abadde agenda okulima ne bamutema nga bamulagira okuyingira ebikajjo kyokka n’akuba enduulu esombodde abantu okubadde n’ababadde bagenda e Namugongo nga bali mu mmotoka olugendo abamu ne balukomya wano nga basuubira nti mu maaso wandibaayo abalala

0 Comments:
Post a Comment
<< Home