Sunday, May 22, 2011

AKADOODI MUBULIRI

Abasajja kabanyumira byansusso kubanga gazuukusa omubiri n’obatunuulira nga beesika!
Wabula tobanenya nnyo kubanga bw’ogatunuulira ennyo amazina gano gajudde birungo by’omukwano n’okusoomooza.
Banaffe abagategeera ekiwanvu bagamba nti okugazina nga bagenda okusala embalu kiba kitegeeza nti omusajja akuze era atuuse okuwoomera ebinnonoggo by’omukwano.
Amazina gano geetooloolera ku bakazi era be basinga okukanyumisa n’okuggyayo amakulu gaako. Okugeza waliwo lwe bayimirizaako okugulu okumu eno nga bwe bakunkumula ebiwato ng’omutali ggumba.
Olwo babeera bagamba omusajja agenda okukomolebwa nti, ‘olabye bulijjo ky’obadde osubwa’?
Abakazi abamanyi okuyiiya, amazina g’akadodi tebakoma kuganyumirwa bunyumirwa, wabula bakoppako obukodyo bwe batwala mu kitanda ne bunyumisa ekigwo ky’abakulu.
Ggwe omukazi ayagala okuzina akadodi mu kitanda, tandika bw’oti;
Bw’oba onaakazina oteekwa okuwaayo okugonza ekiwato, osobole okukikyusa nga kidda buli ludda, awatali kukaluubirizibwa.
Ekimu ku bigonza ekiwato kusiba bizibu n’ebirowoozo ku nkondo y’ekitanda ne mutandika omukwano nga tolina kye weeraliikira. Ekirala yiga okukola ekisesayizi gamba ng’okuzina kola ekisesayizi y’okuzina amazina ga ‘kibugga’.
Bwe mutandika okwesanyusa, sooka n’oludda olukwanguyira ekiwato okinyeenye ng’okizza eyo. Oyinza okutandika ng’ekiwato okukitwala mu maaso oba waggulu n’owuubayo luutu nga ssatu nga bw’oyambuka ate n’ozza. Kino kye bayita okusembeza emmere oba enyintu ng’abamu bwe bakiyita.
Mu mbeera eno eky’ensuti obeera ekisitudde nga kiri mu bbanga oba mu bwengula. Tewali kinyumira musajja nga kunyumya kaboozi ng’obukazi abusanze mu bwengula era ogenda okumutunuulira ng’atandise okusobolobeza.
Naye ng’oyagala okumulaga nti watendekebwa, waggulu tomulwisaayo.
Mukyuse mangu ‘channel’ (soma kyano) ekiwato okizannyise ng’okizza wansi oba emabega. Kino kisiikuula omusajja kuba obeera omukookoonyezza anti agenda okutuuka w’abadde aliira ng’essowaani tagirabako.
Ky’akola mu kiseera kino aggulawo olutalo okuginoonyeza wonna weeri. Teweeraliikirira nti lutalo lwa kukulumya wabula luba lutalo lwa laavu era mujja kulunyumirwa.
Ggwe nakyala olwo obeera ofuuse ‘David Obua’ anti omusajja atandika okutenda nga bw’omanyi okusala!
Bw’aba ng’akuzudde wansi gy’oli era ng’atandise okumanyiira embeera ate mukube ekimmooni okyuuse ekiwato okivuge ng’okizza erudda n’erudda . Wano obeera omutegeeza nti tokolera mu kituli kimu nga ppeesa.
Wano ajja kutandika okutya kubanga ojja kuba omulinnye ku biziyiza. Bw’aba omusajja amanyi omuzanyo atandika okufukumula ebigambo by’okusiima , okwebaza , n’okutenda eyakutendeka.
Abasajja abamu wano batandika okukulukusa amaziga n’okwegayirira nti ‘toggyaawawo’. Kino akyogera ng’omuvuze ku ludda olumunyumidde n’atuuka n’okusannyalala ebinywa. Era wano abakazi abagezigezi we basabira essimu, olugoye lwa ppate oba ssente z’enviiri.
Kati nno omukazi yenna ky’alina okukola kwe kwetegereza ennyo amazina g’akadodi oyongere okukaggyamu ekikuyamba okukuuma obufumbo bwo.
Jjukira guno mwaka gwa kusala mbalu era e Bugisu baatandise dda emikolo.

0 Comments:

Post a Comment

<< Home